ENYAMBALA ENTINGOLE MU SSIGA LYA LUTALO
Abazukulu okuva mu ssiga lya Lutalo era mu omutuba GWA MULIGO nga banekanekanye mu kyambal...
EbiralaOkukuuma obuwangwa bwaffe n'ennono ku lw'abaliwo nabaliddawo.
Abazukulu fenna tuva mu Jjaajja Kalyesubula eyali Lwomwa eyasooka. Lwomwa eyasooka ye yazaala Ndalu Masimbi eyazaala Sebambulidde Bbosa- Lutalo 1 (eyatandikawo e Ssiga lino).
Bbosa Sebambulidde Lutalo yakulira wa Jjaajjawe Kalyesubula eyamwagala ennyo, era n'amuwaayo kwe kuweebwa ebitiibwa eby'emirundi ebiri:
Eyategeezanga Kabaka Namasole - Nalugwa (Maama wa Kabaka) by'eyayagalanga okutegeeza Mutabani we, mu biseera ebyo yali Ssekabaka Kimbugwe.
Yali aleeta amawulire okuva mu Lutalo nga Buganda egaziya ensalo zaayo mu biseera ebyo. Ate nga yali Mulwanyi Namige.
Kigambibwa, nti olw'emirimu emirungi gy'eyakola, yaweebwa okutandikawo e Ssiga mu Kika kye Ndiga eryatumibwa LUTALO. Ssekabaka n'amulagira okuba embuga ye. Okuva olwo ne liyitibwa Essiga lya Lutalo nga e Mbuga eri Katabuulwa -Buyijja.
Lyatandikawo ku mulembe gwa Ssekabaka Kimbugwe (1634-1644). Enkiiko z'eSsiga lino zituula buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi.
Alikulira ye GGUBYA JAMES BENNETT SSERUNKUUMA SERWABWE ey'atuuzibwa nga 25.5.2024. Ono nga ye Lutalo owe 12. Katikkiro w'alyo ye KYOBE FRANCIS era nga ye Omwami we Gombolola Musaale Buwama - Mawokota.
BBOSA Sebambulidde Lutalo yazaala abaana abalenzi 15 era n'abawala 19. Abalenzi yabasimbira emituba era n'ebaba nga b'ebaatandikawo emituba egiri mu Ssiga lye. Wabula EMITUBA 2 kugyo gy'aweebwa baana ba Ndalu baganda ba Sebambulidde Bbosa Lutalo 1, okuli NAMALUSU ne SSENGOMA nga bano baafuna emituba okuva ku jjjajaawe Ndalu.
Essiga lino liyina emituba ejiwerera ddala 17 ne wankubadde nga ejimu tejinazuulwa. Emituba gyonna, awamu ne Bbosa e Ddambwe eyali mu byafaayo:
Emituba gyonna 17 gye tusinziira ku lupapula lwa Emituba.
Bano be bakulembeze abatwala essiga lyaffe. Bano basunsulibwa n'obwegendereza era ne bakakasibwa nti basaanidde olwobukugu, obumanyirivu, wamu n'ebisaanyizo ebirala ebyagobererwa.
Lutalo(XII)
Mpande e Kabira
0772408350
Katikkiro
Mpande e Kabira
0777547758
Mukubiriza
Wabala e Busujju
0751725325
Muwandiisi
Namalusu e Bulyanga
0755647009
Muwanika
Mpande e Kabira
0772543073
Owebyenjigiriza
Muliggo e Bongole
0772667292
Owebyobulamu
Mpande e Kabira
0753950811
Owebyokwerinda
Kasozi e Maziba
0702403553
Owabavubuke n'ebyemizannyo
Ggubya e Lunnyange
0703901691
Omuwabuzi
Namalusu e Bulyanga
0758990989MUBAKA WA LUTALO -USA
Mpande e Kabira
+845****341
Omubake wa LUTALO e German
Namalusu e Bulyanga
+491****2509
MUBAKA WA LUTALO E NEW YORK
Mpande e Kabira
+150***8883
MUBAKA WA LUTALO -GERMANY
Mpande e Kabira
+49****08981
ABADDE NNYO MU KUKOLERA ESSIGA
Yakulira OMUTUBA GWA GUBYA E LUNYANGE
YAKUBA OMUBALA GWEKIKA KYENDIGA OKUVA 1960
YAKULIRA OLUNYIRIRI LWA DAUDI NDAGGA ZAAKE. Yakulira oluggya lwa Yese Bbosa e Bunnamwaya.
Best Lutalo
Demonstrated extra ordinally commitment to the service of the Ndiga Clan and exceptionally to members of Essiga Lya Lutalo of Buyijja Mawokota.
Omukolo gwokutuuza Jjajja Lutalo(12) Bennet Ggubya Sserunkuuma Ssarwabwe.
Ebyafaayo byekika Ky'endiga mu Bufunze.
Omukolo gwokwanjula Lwomwa omuggya mu Bulange.
Lutalo owe 12 Bennet Ggubya ngakowoola abazukulu kumukolo
ABESSIGA NGA BATEGEKEDDE EKIFAANANYI OLUVANNYUMA LWOLUKIIKO
AWO SEBAMBILIDDE PATRICK YATUZIBWA OKULEMBERA OMUTUBA GWA K…
OLUMBE E BUMBO MPIGI
Omukolo gwokulaga okwagalana mu ba mmemba
Weekumire mu kumanya nga ogoberera ebyo ebigenda mu maaso mu ssiga lyaffe, okusinziira mu bitundu ebyenjawulo.
Abazukulu okuva mu ssiga lya Lutalo era mu omutuba GWA MULIGO nga banekanekanye mu kyambal...
Ebirala
AKULIRA OLUNYIRIRI LWA DAUDI NDAGGA ZAAKE NGAKUBA OMUBALA GWEKIKA NGA OLUKIIKO LWESSIGA LU...
Ebirala
NGA ENNAKU ZOMWEZI 14/9/2024, ESSIGA LYA LUTALO NGA LIKULEMBEDDWA OWESSIGA LUTALO LYAYABYA...
Ebirala
Nga ennaku zomwezi 7/12/2024, ennyimbe eziwerera ddala mukaaga (6) zayabizibwa mu mu mutub...
Ebirala
KULUNAKU LUNO NGA 1.6.2024 ESSIGA LYA LUTALO NGA LIKULEMBEDDWA KATIKKIRO FRANCIS KYOBE, BA...
Ebirala
Nga ennaku zomwezi 25.5.2024, owessiga Lutalo owe 12 Engineer Bennet Ggubya Sserunkuuma Ss...
EbiralaWano osobola okulondoola obuvo n'obuddo bwo nga bwe buli, nga osinziira ku bajjajjaabo n'engeri gyebaazaalamu. Buli linnya lyamuntu lyonyigamu, olaba ebimukwatako omuli amannya ge, ebimukwatako mu bufunze, muzzadde we, wamu n'abaana be yazaala.
Wano olaba omuwendo gw'abantu abawandiikidde mu buli mutuba — abantu b'emituba, abantu ba famile, n'abantu abawandiise ku bubwe — nga bwekirambikibwa mu kitabo kyessiga lyaffe.
Nyiga ku linnya lya famile olabe abantu baayo.