Essiga lya Ssekasamba
Bya Robert Nviiri, Omuwandiisi w'Ekika
Ssekasamba yali muganda wa jajjaffe Mbaale bwe bazaalibwa Ggulu Wemba Ssekugulukumu VIII. Mbaale bwe yatandikawo Ekika kye eky'Endiga, muganda we Ssekasamba na ye n'amugamba nti ajja kweddira Ndiga nga ye. Eyo ye yali entandikwa y'Essiga lya Ssekasamba.
Owessiga yabanga wa nsikirano okutuuka ku mubuze Mbugaano, olwo n'aba nga alondebwa bulondebwa abaana be Abeemituba.
Owessiga Ssekasamba aliko kati ye Haji Hassan Kassim Lutalo ava mu Mutuba gwa Kkalumba Njakaasi era eyali agukulembera nga tannalondebwa ku bukulu obwo.
Emituba (7)
- Ssemuwuulu e Buddo - gukuumibwa Rev. Emeritus Eriasafu Gotto Ssekyaya. Owekifundikwa Moses Sserunkuuma awangaalira Bungereza
- Masiki e Mifuuwe - agutwala ye Muleega Patrick
- Kiweresi e Bugabo
- Kkalumba Njakaasi e Kyayaaya
- Gotto
- Sserunkuuma e Bugomola - agutwala ye Afiru Ddamulira
- Luwalira e Buddo - agutwala ye Ssenkaayi Bbosa
Owessiga Ssekasamba y'asumika muganda we (muzzukulu we omwana wa mutabani we Buvi) Lwomwa.
Obutaka bw'Essiga buli Busamba ku lusozi Mpami e Mbaale mu Mawokota.